Bya Henry Lubuulwa
Ate poliisi mu disitulikiti ye Kalangala ekyanonyereza ku musajja ow’emyaka 33 okutta omuvubi n’amubbako omufaliso gwe.
Bino byabadde ku mwalo gwe Lutoboka nga era okusinziira ku beerabiddeko n’agaabwe bagamba baasanze omulambo gwa Arnold Muyanja mu kitaba ky’omusaayi .
Bwebaagenze okwaza amaka g’omukwate nebasangayo omufaliso gw’omugenzi nebaagala okumumiza omusu poliisi n’emutaasa.
Atwala poliisi ye Kalangala David Tenywa agamba bakutte n’abantu abalala okuyamba ku kunonyereza ku ttemu lino.