Bya Ali Mivule
Ttiimu y’eggwanga ey’omupiira the Cranes etandise nabuwanguzi mu kusunsulamu abanetaba mu za Africa ezigenda okubeera e Cameroon mu 2019.
Yadde nga baatataganyiziddwa mu byentambula okutuuka e Cape Verde, Cranes yalumye n’ogwengulu okukuba banyinimu aba CapeVerde 1-0.
Muyizi tasubwa wa KCCA FC Geofrey Sserunkuuma yeyateebye goolo yokka .
Uganda kati ekulembeddemu ekibinja n’obubonero 3 , Tanzania ne…
Bya Shamim Nateebwa
Poliisi ye Nabweru eriko omukazi gw’ekutte lwakuzaala mwana n’amutuka era n’amuziika.
Florence Nannono owemyaka 23, nga mutuuze we Nabweru -South y’akwatiddwa oluvanyuma lwa kitaawe omuto,Yasin Kasali okwekubira enduulu ku poliisi y’e Nabweru ng’ayagala enoonyereze muwalawe gye yatadde omwana gwe yazadde.
Kasali agamba nti omuwala no yamulese awaka nagenda okukola nga asulirira kuzaala wabula bwe yakomyewo…
Minisitule y’ebyenguudo olwaleero lwetandika okugabanya ebyuma ebirima enguudo mu disitulikiti ez’enjawulo.
Disitulikiti 35 zezigenda okusooka okuganyulwa mu nteekateeka eno naddala mu massekati g’eggwanga.
Buli disitulikiti egenda kufuna ekimotoka ekisenda ettaka 1, ekittika ettaka 1 , ekiggumiza ettaka 1 .
Twogeddeko ne ssentebe wa disitulikiti ye Mubende Francis Kibuuka Bazigatirawo ku kiragiro kya pulezidenti okukwata bulungi ebyuuma bino.
Bya Ali Mivule
Bazzukulu ba Kayiira ab’eddira e Mbogo wamu n’aba Kasujja ab’engeye bebagenda kuggulawo emipiira gy’ebika bya Baganda egy’omwaka guno.
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi y’asiimye okuggulawo empaka zino nga 8 July 2017.
Enteekateeka eno efulumiziddwa wali e Bulange Mengo .
Ab’e mbogo baakawangula engabo eno enfunda 2 nga era ebika 43 byamaze dda okwewandiisa.
Bazzukulu ba…
Bya Ali Mivule
Omubaka wa Makindye West mu palamenti Allan Ssewanyana awawabidde akulira omupiira Moses Magogo mu kibiina ekiddukanya omupiira mu nsi yonna ekya FIFA nti yabulankanya tiketi z’ekikopo ky’ensi yonna ekya 2014.
Ssewanyana agamba tiketi zino zaali ziweereddwa bannayuganda mbu Magogo n’aziguza abantu abalala.
Omubaka ono nga y’omu ku bananyini kiraabu ya Katwe United Football Club era…
Olwaleero eggwanga lyonna lirinze minisita w’ebyensimbi Matia Kasaijja okusoma embalirira mulindwa ey’omwaka gw’ebyensimbi 2017/2018 nga era yabutabalika 29 bwebuwumbi emitwalo 29000.
Gavumenti esuubira okukunganya obutabalika 15 ku nsimbi zino by’ebitundu nga 48% okuva mu misolo gyakuno.
Ensimbi 30% zakusaasanyizibwa ku byakuzimba nguudo, sso nga ebyamasanyalaze biriko obutabalika 2 n’obuwumbi 3.
Bya Ali Mivule
Oluvanyuma lw’okulangirira Quarantine mu bitundu bye Nηoma n’emiriraano, Katikamu ne Nakasongola bana Wakiso balabuddwa obutesiga nsolo yonna eretebwa mu kitundu okugyako nga tebasoose kugyekebejja.
Ngayogera ku ntekateka ey’okulwanyisa ebirwade ebyalumbye ensolo mu bitundu bya Luweero, Nakaseke ne Kiboga, akulira ebyobulunzi, obulimi n’obutale mu district ye Wakiso, Dr Patrick Oine, ategezeeza nga bwebalina okunweza ensalo…
Bya Ali Mivule
Meeya w Nakawa Ronald Balimwezo Nsubuga atiisizza okwanika ba kansala abamuiisatiisa okumugyamu obwesige ku nsonga ye z’agamba nti tategeera.
Kino kiddiridde bakansala abamu nga bakulembeddwamu Ssagala Bayomba Kasim nga balumiriza meeya okukozesa obubi ofiisi ye n’okugya ensimbi mu batuuze.
Ba kansala bano balumiriza meeya okubeera nakyemalira nga ofiisi agitwalira mu nkwawa kale nga baagala akyuse…
Poliisi mu ggwanga lya Mozambique erabudde abasajja abalina ebiwalaata nti ababayigga beyongedde.
Kino kiddiridde abasajja 2 okusangibwa nga batemeddwako emitwe nga babagyemu ennimi n’ebitundu by’emibiri emirala.
Mu ggwanga lino abasamize balimbalimba abantu nti bw’ofuna omutwe gw’alina ekiwalaata oba omaze okugaggawala kale abamu babikkiririzaamu.
Bya Gertruce Mutyaba
Owogezi wa Poliisi mu ggwanga AIGP Asan Kasingye asisinkanyemu abakulu ba poliisi mu district ye Masaka wamu n’abatuuze oluvannyuma lw’ensisinkano n’abasirikale abali mu district eno.
Kasingye waakutalaaga district za greater Masaka omwenda mu sabbiiti eno nga alondoola enkola y'emirimu y'abasirikale.
Bw’abadde ayogerako n’abatuuze, Kasingye yennyamidde enkola y’emirimu ku poliisi e Masaka olw’okuba nti balemererwa okumanya…