Skip to content Skip to footer

Bakansala batiisizza okujja obwesige mu meeya

Bya Ali Mivule

Meeya w Nakawa Ronald Balimwezo Nsubuga atiisizza okwanika ba kansala abamuiisatiisa okumugyamu obwesige ku nsonga ye z’agamba nti tategeera.

Kino kiddiridde bakansala abamu nga bakulembeddwamu Ssagala Bayomba Kasim nga balumiriza meeya okukozesa obubi ofiisi ye n’okugya ensimbi mu batuuze.

Ba kansala bano balumiriza meeya okubeera nakyemalira nga ofiisi agitwalira mu nkwawa kale nga baagala akyuse mu neyisa.

Wabula Balimwezo abaddizza omuliro n’ategeeza nti abamuwalampa beebo abali b’enguzi b’agaanye okukolagana nabo kale nga singa banamunyigiriza nyo wakubaanika.

Leave a comment

0.0/5