Poliisi mu ggwanga lya Mozambique erabudde abasajja abalina ebiwalaata nti ababayigga beyongedde.
Kino kiddiridde abasajja 2 okusangibwa nga batemeddwako emitwe nga babagyemu ennimi n’ebitundu by’emibiri emirala.
Mu ggwanga lino abasamize balimbalimba abantu nti bw’ofuna omutwe gw’alina ekiwalaata oba omaze okugaggawala kale abamu babikkiririzaamu.