Bya Shamim Nateebwa
Poliisi ye Nabweru eriko omukazi gw’ekutte lwakuzaala mwana n’amutuka era n’amuziika.
Florence Nannono owemyaka 23, nga mutuuze we Nabweru -South y’akwatiddwa oluvanyuma lwa kitaawe omuto,Yasin Kasali okwekubira enduulu ku poliisi y’e Nabweru ng’ayagala enoonyereze muwalawe gye yatadde omwana gwe yazadde.
Kasali agamba nti omuwala no yamulese awaka nagenda okukola nga asulirira kuzaala wabula bwe yakomyewo gweyabadde asuubira okuba nga abuusa bebi nga yesibye bigoye nga n’omwana tamulina n’amutegeeza nga omwana bweyabadde amusuulidde kitaawe abadde tamuwa buyambi.
Poliisi ngekulembeddwaamu ASP Komaketch gwetusanze ku ggwanika e Mulago ategezezza nga bwebayitidwa omuwala w’abadde asula nebamukwata.
Komaketch ayongeddeko nti abatuuze beekozeemu omulimu ne batandika omuyiggo okukkakkana nga bagudde ku kifo ekigulumivu nebayita poliisi n’essimawo nebasanga nga omwana y’amuziise amusibye amagulu nga mubulago amusibyemu ekigoye kyeyakozeasezza okumutuga.