Minisitule y’ebyenguudo olwaleero lwetandika okugabanya ebyuma ebirima enguudo mu disitulikiti ez’enjawulo.
Disitulikiti 35 zezigenda okusooka okuganyulwa mu nteekateeka eno naddala mu massekati g’eggwanga.
Buli disitulikiti egenda kufuna ekimotoka ekisenda ettaka 1, ekittika ettaka 1 , ekiggumiza ettaka 1 .
Twogeddeko ne ssentebe wa disitulikiti ye Mubende Francis Kibuuka Bazigatirawo ku kiragiro kya pulezidenti okukwata bulungi ebyuuma bino.