Bya Damali Mukhaye
Nga Uganda yegatta ku nsi yonna okukuza olunaku lw’ekirwadde kya Sickle cells, Minisitule y’ebyobulamu esabye bannayuganda bonna okwongera okutwala abaana baabwe abali wansi w’emyaka 2 okukeberebwa ekirwadde kino ki kattira.
Okusinziira ku muwandiisi wenkalakalira Diana Atwiine ebibalo biraga nti abaana 25,000 buli mwaka bazaalibwa n’obulwadde buno nga era ku bano 80% bafa tebanaweza myaka 5.
Dr Atwine agamba minisitule kati ebakanye ne kawefube w’okukebera amabujje gano naddala mu bitundu ekirwadde kino gyekiilisiza enkuuli.
Emikolo gy’olunaku luno gyakukwatibwa mu disitulikiti ye Kamuli nga era y’emu ku zi disitulikiti ezisingamu ekirwadde kino mu Uganda.