Ab’ebyamasanyalaze kuno balina enteekateeka y’okukomya okugula amasalaze okuva mu ggwanga lya Rwanda agakozesebwa mu tawuni ye Kisoro kubanga gavaavaako.
Yinginiya wa UMEME owa disitulikiti ye Kisoro Naboth Aine ategezezza olukiiko lwa disitulikiti nti amasanyalaze okuvaavaako kisanyalazza nyo emirimu naddala mu malwaliro n’aba bizinesi.
Rwanda y’ebadde eyasa Kisoro okumala ebbanga eriwerako wabula Aine agamba nti amasanyalaze gano okuvaavaako kibalemesezza embeera nga kati balina enteekateeka y’okugatta tawuni eno ku masanyalaze agava e Jinja.
Ssentebe w’akakiiko k’alukiiko lwa disitulikiti akakola ku by’obulamu Expedito Byensi ategezezza nga amasanyalaze okuvaavaako bwekikosezza enyo amalwaliro.