Bya Shamim Nateebwa
Olunaku olwaleero olukiiko lwa Buganda lwakuddamu okutuula nga nebikulu ebisubirwa kwekusoma kw’embalirira eyomwaka 2017\18.
Omwaka gwebyensimbi oguwedde olukiiko lwa Buganda lwayiisa embalirila ya buwumbi bwakuno 73,nga n’essira ekulu lyali ku byanjigiriza ,ebyobulimi nebyobulamu.
Mungeri yemu wagenda kubawo olutuula olwenjawulo okujjukira emirimu gyomugenzi Ssebaana kizito nga bwekyasalibwawo Ssabasajja Kabaka.