Ebyemizannyo
Teri kulaga mupiira nga tewali bukuumi
Poliisi esabye abo bonna abategeka okulaga empaka z’ekikopo ky’ensi yonna okubategeeza nga bukyaali basobole okubawa obukuumi Empaka z’akamalirizo ez’ekikopo kino za nga 13 ye ssande eno era nga olunaku luno lwelumu mu mwaka 2010 abatujju lwebattirako bannayuganda abatalina musango. Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano […]
Neymar ssiwakuddamu kuzannya mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna
Omuzanyi wa tiimu ya Brazil Neymar tagenda kuddamu kuzanya mu kikopo kya world cup. Neymar yafunye obuvune ku mugongo nga Brazil ewangula tiimu ya Colombia goolo 2:1 akawungeezi k’eggulo. Brazil yakuzanya Germany mu luzanya lwa semifinals weeki ejja.
Kikankane abivuddemu
Duncan Kikankane Mubiru awanduse okuva mu mpaka z’emmotoka Southern Motor Club Rally. Kikankane agambye nti kino akikoze okusobola okwetegekera empaka endala ezigenda okubeera e Rwanda okuva nga 18 omwezi guno. Ono agambye nti ayagala kuwangula ngule esingako nga y’ensonga lwaki tayagadde kukooya mmotoka ye Kikankane […]
Robben aluyiseeko
Ayen Robben aluyiseeko oluvanyuma lw’ekibiina kya FIFA okutegeeza nti ssiwakubonerezebwa ku by’okwesuula nga teri amukonyeeko Ono yagwa wansi ekyavaako okubawa peneti okukkakkana nga Netherlands ewangudde ne goolo 2 nga Mexico erina emu. Robben ow’emyaka 30 agamba nti teyabbye kyokka nga yetonda olw’okwesuula Omutendesi wa Mexico […]
Ghana afunye ssente
Gavumenti ya Ghana ewerezza obukadde bwa doola busatu eri tiimu yaayo e Brazil mu mpaka z’ekikopo ky’ensi yonna. Amyuka minisita akola ku by’emizannyo Joseph Yamin ategeezezza ng’abazannyi bwebabasabye okubawereeza ensimbi enkalu nga y’ensonga lwaki bawerezza ssente zino ku nyonyi Tiimu ya Ghana ezannya nkya nga […]
Kipsiro yandisubwa egya Common wealth
Kafulu mu kutolontoka emisinde, Kipsiro asemberedde okusubwa okwetaba mu mpaka za commonwealth games. Kipisiro ono kitegerekese nga teyagenda kukyuusa bimukwatako mu ggwanga lya Scotland. Ssabbiiti ssatu emabega, Kipsiro yajjibwa ku lukalala lw’ekibiina ekitwala abaddusi olw’abantu 18 abagenda okwetaba mu mpaka zino omwezi ogujja kyokka ng’olukalala […]
Schumacher azze atereera
Munnabyamizannyo Michael Schumacher kyaddaaki asiibuddwa era nga takyali mu mbeera mbi Omusajja ono ow’emyaka 45 akyusiddwa kati n’addizibwa mu ddwaliro eddala mu ggwanga lya Switzerland gy’agenda okujjanjabibwa Schumacher ono abadde ku byuuma nga byebimuyamba okussa okuva nga 29 omwezi gwa December omwaka oguwedde Kino yakituukako […]
Emipiira gy’amasaza giguddwaawo
Ssabasajja Kabaka agguddewo emipiira gy’amasaza ga bUganda.
Ekikopo ky’ensi yonna- Temutambula kiro
Nga world cup etandika olunaku olwaleero poliisi erabudde abntu bonna okwewala okutambula mu matumbi budde. Olwenkyukakyuka mu biseera, empiiira gyonna okuva e Brazil gyakulagibwanga mu matumbi budde. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba abantu basaanye okwegendereza enyo ebyokwerinda byaabwe wakiri batambulire mu bibinja […]
Amateeka ku world cup gafulumye
Poliisi mu Kampala efulumizza amateeka agalina okugobererwa abalabi b’omupiira mu biseera by’ekikopo ky’omupiira ekyensi yonna ekya world cup. Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategezezza nga abadumizi ba poliisi ku buli Division bwebalagiddwa okulambula ebifo byonna ebigenda okulaga emipiira gyino saako n’okwekenenya ababikoleramu bonna. […]