Omuzanyi wa tiimu ya Brazil Neymar tagenda kuddamu kuzanya mu kikopo kya world cup.
Neymar yafunye obuvune ku mugongo nga Brazil ewangula tiimu ya Colombia goolo 2:1 akawungeezi k’eggulo.
Brazil yakuzanya Germany mu luzanya lwa semifinals weeki ejja.