Poliisi etegeezeza nga bw’emazze okwetegekera obulungi emisinde egigenda okubaawo ku lunaku olwa Sunday, nga gino gyeginaweerekera ebikujukko bya poliisi okuwezza emyaka 100.
Gino emisinde gigenda kugulwaawo sipiika wa palament y’eggwanga , era nga gitambulidde ku mulamwa ogw’okusonda ensimbi ez’okuymba abaayirwa acid.
Ayogerera poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango agambye nti buli kyetaagisa kiwedde , Naddala eby’okwerinda.