Ebyemizannyo
Uganda Cranes yetegekedde
Tiimu ya Uganda cranes yakuzannyamu ogw’omukwano n’abe Rwanda aba amavubi stars mu kwetegekera ekikopo kya CECAFA. Omupiira guno gwakubeera mu kisaawe e Namboole nga 15 omwezi ogujja Uganda cranes yakusooka kukwatagana ne Kenya nga 24 omwezi ogujja
Ferdinand ne Hodgson balondeddwa
Eyali akulira tiimu ya Bungereza Rio Ferdinand n’omutendesi wa tiimu eno Roy Hodgson balondeddwa ku kakiiko akagenda okuzza tiimu y’eggwanga engulu. Okulondebwa kwaabwe kuddiridde okwemulugunya ku kakiiko kano okuba nti kajjuddeko beeru na basajja Ferdinand nga muzibizi mu tiimu ya Man United yakoma okuzannya ogw’ensimbi […]
Ekikopo Kya Eid
Nga abayisiramu bakuza Eid olunaku lw’enkya,wategekeddwaawo ekikopo kya Eid Aduha wakati wa team ya Express ne KCCA FC mu kisaawe e Nakivubo. Nga omupiira ogw’ekikopo tegunazanyibwa, wagenda kusookawo omupiira ga bama Sheik ne ba Haji ku ssaawa munaana. Omugenyi omukulu ye Deputy Mufti, Sheik Mukulu […]
Liigi y’okubaka eyongezeddwaayo
Liigi y’eggwanga ey’omuzanyo gw’okubakal nate eyongezeddwaayo okutuuka omwezi ogujja. Oluzanya olw’okubiri olwa League eno lubadde lwakuddamu akawungeezi ka leero mu kisaawe e Namboole wabula club zigaanye okuzanyira e Namboole nga zitegeeza nga bwezitalina busobozi bwa nsimbi kupakira bazannyi kubatwaala Namboole. Kati ko akakiiko akateesi […]
Cranes efunye ekibinja
Cranes eyabazanyi abasambira ewaka eteredwa mukibinja B mukalulu akakwatidwa mukibuga Cairo akawungeezi ka leero. Mukibinja kino mulimu Zimbabwe,Morocco ne Burkina Faso. Empaka ezakamalirizo zakubeera mu South Africa omwezi gwa January omwaka ogujja. Bo abategesi South Africa bali mukibinja A omuli Mali ,Nigeria ne Mozambique. Guno […]
Cranes esitudde
Team ye gwanga eya Cranes esitudde emisana ga leero ku nyonyi ya Kenya Airways nabazanyi amakumi 20,okwolekera egwanga lya Botswana. Eno gyebagenda okusamba omupiira ogwomukwano nga tebanagenda Morocco okusamba ne Senegal week ejja. Mu mpaka ez’okusunsulamu abaneetaba mu za World cup ezigenda okubeera e Brazil […]
Eza masaza
Empaka za kamalirizo eza massaza ez’omwaka guno zikakasidwa nga zakubeerayo nga 5th omwezi ogwekumi,october. Omuwandiisi wakakiiko akateesi teesi kempaka zino Rogers Mulindwa ategezezza nga Ssabassajja Ronald Muwenda Mutebi bwasiimye okuggalawo empaka zino era zigenda kubeera mukisaawe e,Nakivubo. Empaka zino ziri kuluzanya lwa semi finals eziri […]
Andy Mwesigwa tali bubi
Omusawo wa tiimu ya Uganda Cranes Ronald Kisolo asambazze ebibade byogerwa nti obulwadde bwa Andy Mwesigwa bwandimulobera okuzanyira ku mutindo ogwabulijjo uganda bwenaba ezanya ne Senegal mwezi ogujja. Kinajjukirwa nti Mwesigwa yafuna obuzibu mu viivi bweyali azanyamu ne banne mu gwanga lya Kazakhstan gy’azanyira era […]
Kiprotich alidde nga mulimi
Embeera eyongedde okutereera eri omuddusi Stephen Kiprotich President Museveni amuwadde emmotoka ekika kya Mitsubishi Pajero n’enyumba President era abaddusi bonna abagenda e Moscow mu gya babinyweera nabo abawadde obukadde kkumi buli omu. N’oluguudo olugenda ku kyaalo kiprotich gy’ava lwakukolebwa n’obuyambi okuva mu banka y’ensi yonna. […]
Tiketi za World Cup zitundibwa
Tiketi z’okulaba omupiirta gw’ensi yonna ogugenda okubeera mu Brazil zitandise okutundibwa Abagaala Tiketi zino bagenda ku mukutu gwa FIFa ogwa Internet Abateesiteesi bakukubisa tiketi obukadde busatu mu emitwaalo 30 nga bagerageranyizza ku bantu abasemba okulaba empaka zino mu South Africa mu mwaka gwa 2006 […]