Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Ebyemizannyo

Alekulidde

Okuvaako mu Fufa,abadde akulira ebyensimbi Anthony Kimuli alekulidde ekifookye olwensonga ezitebereka. Kino wekigidde nga Fufa yakafulumya embalirira yemipiira okuli ogwa  Zambia,Liberia ne Angola week eno. Kimuli abadde mukifo kino okumala emyaka enna (4years) era mukiseera kino yagenze mugwanga lya Scotland kumirimu gye emirara. Kimuli tayatudde nsonga yonna emulekulizza wabula ye Omwogezi wa Fufa Rogers Mulindwa,ategezezza nga

Read More

Egy’ebika giddamu

Emipiira gyebika gyiddamu olunaku lwa’leero ,e’Ngabi eNnyunga bakukwataganako ne Njovu kussaawa munaana (2pm) ate bazzukulu ba mugema  abe’Nkima bakwatagane ne Nkusu kussaawa kumi (4pm) Emupiira gyombi gyakubeera mukisaawe e’Nakivubo era okuyingira kwa nusu shs 3,000=. Empaka zino zaggulwawo kulwomukaaga era e’Mbogo yeyawangula oluvanyuma lwokukuba ekika kye’Ffumbe goal emu kubwererebn (1-0).  

Read More

Empaka z’emmotoka zissiddwamue nsimbi

Company ya shell etadde millions shs100m mumpaka za Pearl of Afric a Rally ezomwaka guno. Empaka zino zitongozedwa olunaku lwaleero ku Shell Lugogo era zakubaayo nga enaku zomwezi 16thne 17th August omwezi ogujja.   Abavuzi amakumi 21 bamaze okwewandiisa era nga abategesi basuubira emotoka amakumi 40 okwetaba mumpaka zomulundi guno. Ivan Kyayonka,nga ye  manager wa Shell  mu Uganda, ensimbi zino azikwasiza George Kagimu…

Read More

Abaddusi batuuse

Ekibinja ekisooka ekyabana’Uganda  abagenda okwetaba mu mpaka zensi yonna ezamatendekero ga Universities ezigenda okutandika kulwomukaaga lwa week eno nga 6th okutuuka nga 17th July omwezi guno kituuse mu gwanga lya Russia. Abasoose okutuuka kuliko omutendesi Kiwa Faustino,Sebuliba Patrick kwosa nabaddusi Njia Benjamin ne Nanyondo Winnie. Okusinziira kusentebe wekibiina ekikulembera emizanyo gya Universities mugwanga Penninah Kabenge,ategezezza nga bwasuubira  omugatte gwabantu 27  olunaku lwenkya…

Read More

Uganda esenvudde

Uganda erinye ebifo 13 munsengeka yamawanga agasinga okucanga akapiira munsi yonna kulukalala olufulumizidwa ekibiina ekikulembera omupiira munsi yonna ekya Fifa. Uganda esenvudde okuva mukifo ekye 93th okudda mukye 80th nga kino kidiridde Uganda Cranes okuwangula emipiira omuli Liberia ne Angola mumpaka ezokusunsulamu abanetaba mu za World cup omwaka ogujja. Egwanga lya Spain lyerikyakulembedde munsi yonna ate wo mu…

Read More

Empaka z’ebika -ebyokwerinda binywezeddwa

Akakiiko akateesi-teesi k'emipiira gyebika kategezezza nga bwebongedde  okunyweza ebyokwerinda kulwomukaaga nga emipiira gino giggulwawo. Ekika abe’Ffumbe bebagenda okuggulawo nekika kye’Mbogo mukisaawe e’Nakivubo. Wabula olunaku olwenkya akakiiko kano kakutuula mukafubo nomuduumizi wa Police mu Kampala nemirirwano Andrew Ferix Kaweesi. Nyinimu Ssabassajja Kabaka wa Buganda ne Katikiro be bokka abatagenda kwazibwa kulunako olwo. Omwogezi wakakiiko kano,Lwanga Kamere asabye abantu bonna abagenda okubeera e’Nakivubo…

Read More

Abavuga ez’empaka bawummuzibbwa

Ekibiina ekikulembera omuzannyo gwemotoka zempaka ekya Federation of Motorsport Uganda (FMU) ,olunaku lwa’leero kiyimiriza abavuzi bana (4) okuli Nasser Mutebi,Duncan Mubiru –Kikankane,Geofrey Nsamba ne John Barrows okumala emyaka mukaaga (6yrs) nga tebetaba mumpaka zonna olwobusiwuufu bwempisa. Okusinziira ku sentebe wa FMU ,George Kagimu ategezezza nti abavuzi bano bamaze enfunda eziwerako nga bediima mumpaka ezenjawulo ezizze zitegekebwa…

Read More

Cranes yesunga

Coach wa tiimu yomupiira eya Uganda cranes , Mulitin 'Micho' Sredojevic ayagala tiimu ezanyemu omupiira gwomukwaano nga tebanazanya ggwanga lya tanania mumpaka zokusunsulamu abaneetaba mu za Africa ezabazanyira awaka,   Micho agamba tiimu gyeyalonze yeetaaga omupiira guno okufuna obumanyirivu nga beeetegekera omupiira gwa Tanzania.   Ye omuteebi wa club ya vipers , Ceaser Okhuti omupiira guno taguliimu olwobuvune.

Read More

Teri nguuli

Akakiiko kategezezza nti munkola eyokunyeza effujjo nebyokwerinda,tekagenda kukiriza muwagizi yenna kuyingiza obakutundira mwenge mukisaawe e’Nakivubo e’Ffume bwelinaaba liggulawo ne Mbogo mumipiila gyebika ebyomulundi agwe 69th.   Empaka zomulundi guno zetabidwamu ebika 43 era omutanda yasiimye okuggulawo empaka zino kulwomukaaga nga 6th omwezi guno.

Read More