Bya Monitor
Abakozi baakutandika okufuna ssente zaabwe ezobukadde, ku myaka 45.
Ekiteeso kino kyayisiddwa olukiiko lwaba minister, okukola enomgosererza mu tteeka lya NSSF erya 1985.
Kati mu biralala emirmu gyekitavvu kyabakozi gyekudda wansi wa ministry eyekikula kyabantu, okuva mu ministry yebyensimbi, nga bwegubadde.
Bino bikaksiddwa minister webyemizannyo Charles Bakabulindi eranga mubaka wabakozi mu palamenti.
Mu kusooka abakozi babaddenga baweebwa ssente…
Bya Prosy Kisakye ne Benjamin Jumbe
Abasubuzi ku kizimbe kya Nalule arcade bagadde amadduuka gaabwe, nebasalawo okutuula butuuzi, wabweru nga bawakanya ekyomugagga okwongeza ebisale byobupangisa.
Bano bagamye nti omugagga Guster Lule yayongeza ebisale emyezi 3 emabega wabula nabasubiza okubiakakanyako, wabula kyakyaganye okukola.
Kitegezedwa nti abaali basasula emitwalo 50 yabongeza okudda ku mitwalo 90, abemitwalo 80 okudda ku kakadde…
Bya Ivan Ssenabulya
Omubaka we Buvuma mu palamenti Robert Migadde asabye abavuubi okugenda mu maaso okussa wansi ebikola, okutuusa nga gavumenti eyanukudde ku mwelulugunya kwabwe.
Abavubi ku myalo egyenjawulo okuviira ddala wiiki ewedde bateeka wansi ebikola nga bwakanya, kugwa kwe bbeyi yebyenyanja.
Kati omubaka Migadde aliko byanyonyodde ku mbeera yabavubi.
Bya Ndaye Moses
Gavumenti ya Japan eriko enkata ya buwumbi 2 gyekubye ku Uganda, nga zigenda ku kukozesebwa okukola nokudabiriza enguudo mu district ye Wakiso ne Kampala.
Omukwanaganya wa polojekiti eno Prof. Wakoto Kimura agambye nti obukadde 675 zigenda kutekebwa mu kukola enguudo e Kamwokya ku nkingizzi zekibuga Kampala.
Kamwokya yalondeddwamu olwokuba nti kitundu kisulwamu abantu atanega era…
Ekifanayi kijiddwa mu bikadde
Bya Gertrude Mutyaba
Abalunzi bente e Mutukula ku nsalo ya Uganda ne Tanzania beekumyemu ogutaaka, olwa minisita webyokwerinda Gen Elly Tumwine eyakutte ente zabwe eziwerera ddala 100, nazitwala ngagamba nti baazijje mu gwanga lya Tanzania.
Abalunzi bano balumirizza omusajja ategerekeseeko erya Bernard Lugyendo okukwata ente zabwe nebazisibira ku poliisi, ku biragiro bya minister.
Omubaka we…
Bya Ivan Ssenabulya
Ssentebbe w’olukiiko lwabakyala mu gwanga asabye abakyala okuviira ddala ku byalo, okuwagiranga banaabwe, okufuna ku ssente za gavumenti mu ntekateeka ezenjawulo.
Farida Kiboowa agamba nti abakyala bangi mu byalo abatalina kyebamanyi, nayenga ate waliwo era abaliko kyebamanyi abasobola okuyambako ku banaabwe kungeri gyebasabamu ssente za gavumenti nebirala.
Wano era agambye nti nabakulembeze babakyala bavunayzibwa kinene…
Bya Shamim Nateebwa
Abasuubuzi b'ente mu district okuli Mbarara, Lyantonde, Ssembabule ne Mutukula bavudde mu mbeera nebekalakaasa, nga balaga obutali bumativu bwabwe ku nguzi esusse mu bakungu ba gavumenti.
Bano bakiis loole zaabwe mu luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka mu Kabuga ke Lukaya.
Bano obwedda waliwo ofiisa gwebalumiriza nti buli mmotoka etuuka e Lukaya agisolozaako ssente…
Bya Ivan Ssenabulya
Ekitongole ekiwooza mu gwanga kiri mu kattu oluvanyuma lwabasubuzi e Mukono okulumiriza abakozi baabwe okubatulugunya.
Bano basinzidde mu lukungaana olwatudde e Mukono olwayitiddwa omubaka wekitundu Betty Nambooze nebemulugunya mu maaso gabakulu ba URA nti babatulugunya.
Bano era bagambye nti nomusolo gwebababinika mungi.
Yye Jamil Ssenyonjo akolanga omwogezi w’ekitongole kino yetonze, olwebikolwa byonna abasubuzi byebatotodde okuli nokubatisatiisa…
Bya Prosy Kisakye
Poliisi ngeri wamu n'omukutu gwa MTN Uganda bagamba batandise okunonyereza kungeri ssente zabantu gyezajiddwa ku accounta zaabwe ku masimu, mungeri etategerekese.
Omwogezi wa MTN Uganda Val Okecho atubuliidde nti batandise okunonyereza.
Kino kyadiridde ssente zabanatu okuvaako ku masomu zokka nga tebategedde okuviira ddala mu gandaalo lya ssabaiiti, ngabantu abenjawulo bekubidde nenduulu ku poliisi.
Ono agambye nti…
Bya Ndaye Moses
Ekitongole kyamasanyalaze ekya UMEME kirangiridde nti kigenda kuteeka obukadde bwa $ 450 mu kubunyisa amasanyalze mu myaka 6 ejijja.
Ssentekulu wekitongole kino Celistino Babungi agambye nti wetwogerera ngamasanyalaze gabunye mu bantu, ku 25%..
Agambye nti abantu abapya emitwalo 30 bebagenda okuyingibwa omwaka guno.
Celistino abadde awa alipoota ku nkol yemirmu gyabwe, eya 2018.