Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Ebyobusuubuzi

Abatembeeyi baakuweebwanga pamiti

Bya Damalie Mukhaye Abatembeeyi abatambuza ebintu mu Kampala bakkiriziganyiza okutandika okusasula permit ezibakkiriza okukakalabya emirimu gyabwe nga tewali abakuba ku mukono. Kino kidiridde abatembeyi okwemulugunya ku bakwasisa amateeka mu kitongole kya kcca okubatulugunyanga no ku batwalako emmali yaabwe. Bwebabadde mu nsisinkano ne lord mayor wa kampala erias lukwago abatembeyi bakkiriza okusasulayo aka sente basobole okubafunira permit ezibasobozesa okolera…

Read More

Gavumenti yakuteesa ku kyokugabanga ettaka eryobwerere

Bya Benjamin Jumbe Entekateeka ya gavumenti okuwanga ba musiga nsimbi ettaka eryobwerere, kirabika kyandikoma. Gavumenti egamba nti egenda kuteesa ku kuwabula okwkoleddwa omusubuzi Patrick Bitature, bwayabadde ayogerera mu kabondo kababak ba NRM e Kyankwanzi. Bitature yagambye nti egwanga lifiirwa kubanga bangi babawa ettaka lino nebatalikozesa, wabula nerisigala awo ttayo. Kati minister avunayizibwa ku bamusiga nsimbi Evelyn Anite akakasizza nti,…

Read More

Museveni asabye ababaka bamuwagire ku Banka yabanamakolero

Bya Benjamin Jumbe Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni asabye akabondo kababaka bekibiina kya NRM okuwagira ekiteeso kye, okwongera ssente mu banka ekola ku mirimu gyenkulakulana Uganda Development bank. bwabadde ayogera eri ababaka mu lusirika lwekibiina olugenda mu maaso mu district ye Kyankwanzi, pulezidenti Museveni nga ye sentebbe wekibiina ekiri mu buyinza agambye nti gavumenti yetaaga ssente…

Read More

Abalunzi e Kitenga babasimidde Daamu

Bya Magembe Sabiiti Abalunzi mu gombolola ye Kitenga mu district ye Mubende, abaludde nga bafiirwa ente, mu biseera byomusana olw’ebula lyamazzi bafunye ku buwerero. Bano bafunye akamwenyumwenyu, ekitongole kya FOOD AND AGRICULTURE ORGANISATION, bwekibasimidde dam. Abaluunzi muluka gwe Bugoonzi awasimiddwa dam eno, bategezezza nga bwebabadde bakolera mu kufiirwa. Wano omukungu okuva mu kitongole  kye Nkyukakyuka y’obudde Dr  Zziwa Emmanuel, atubulidde  nga  dam eno bwegenda…

Read More

Abalunzi bajaganya

Bya Sadat Mbogo Abalunzi n'abasuubuzi b'ente mu disitulikiti y'e Gomba, bali mu kujaganya oluvannyuma lwa minisitule y'ebyobulimi, obulunzi n'obuvubi okujjawo kalantiini, abadde amaze ebbanga eryemyaka kyenkana 3. Abalunzi baali baganibwa okutunda nokutambuza ebuisolo, nga kibadde kitaddewo embeera enzibu eri abalunzi n’abasubuz. Kino kibadde kukosezza abalunzi, abasubuzi bente, abamata, nomuzigo, wabulanga kati bafunye ku kamwenyumwenyu. Ssalongo Joseph Muvawala omu ku…

Read More

Bannamakolero balagiddwa okugula ebikozesebwa wano

Bya Ndaye Moses Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni asabye bannamakolero kuno okukomya okugula ebikozesebewa okuva ebweru we gwanga, wabula bettanire ebikoleddwa wano. Ono awadde ekyokulabirako nga leeza akozesebwa okukola engato, nga bwasobola aokugulibwa mu Uganda. Okwogera bino abade aggulawo omwoleso ogusookedde ddala, ogwebintu ebikolebwa amunda amu gwanga. Omwoleso guno guli wammu mu ntekateeka gyebatuuma Buy Uganda Build Uganda…

Read More

New Palm k’ekasimu akappya akatono era ak’omulembe akategenda kukujuliriza.

Ojjukira akuuma kebayita Palm Pilot? Bwoba tojjukira nkakasa bazadde bo bakimanyi obanga baali bakawuliddeko. Kale kankujjukize nti mu mwaka 1997 waaliwo kampuni gy’ebayita Palm Company. Kampuni eno yaleeta PDA eyagulawo ekkubo, eri okujja kwa smartphones oba amasimu kika kya sereeza, wabula yagwawo mu 2011, naye kati ekomyewo ku mayengo. Kati osobola okuzannya emizannyo gyo gy’osinga okwagala okuyita ku…

Read More

Kadaga alonze akakiiko okunonyereza ssente z’abasubuzi be S. Sudan

Bya Ritah Kemigisa Omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga atonzeewo akakiiko katandike, okunonyereza ku nsimbi ezalina okuliyirira abasubuzi, obuwumbi 151. Ssente zino kigambibwa nti zakuliyirira abasubuzi 10 bokka, abatwala ebyamaguzi byabwe mu gwanga lya south Sudan, wabula gavumenti yaayo netabasasula. Kati akakiiko kano kagenda kuubirizibwa omubaka omukyala owa district ye Kyankwazi Ann Maria Nankabirwa, nga kalagiddwa okwekenneya olukalala lwabasubuzi…

Read More

Enkola ya BUBU evuddemu ebibala-minista

Bya Damalie Mukhaye Minister owebyobusubuzi amakolero nobwegassi Amelia Kyambadde, atenderezza bann-Uganda olwekwettanira ebyamaguzi ebikolebwa wanao, mu kawefube kwesimbakao amannyo-buy Uganda build Uganda. Bwabadde ayogera ne banamawulire ku Media Center, wakatai mu kwetegekera omweleso gwebintu ebikolebwa wano, Kyambadde agambye nti ebitongole bya gavumenti ngebyebyokwerinda, amalwaliro nebiralala bigula engoye za Uganda, okwawukana kun kola eyaliwo okubgulanga mu gwanga lya…

Read More

Aba taxi ku stage y’entebbe bazeemu nebalwana

Bya Ivan Ssenabulya Abagaoba ba taxi ku stage ye Entebbe mu paaka enkadde, olwaleero nate bazeemu nebalwanagana. Bano bagugulana lwa ssente zebakaungaanya okuva ku stage eno, nga belumiriza nti zigabwa bubi. Bano gyebuvuddeko era batanula okulwanagna, ngabamu babanja nti wabeewo okulonda, kuba obukulembeze obukadde buluddeko. Wabula akulira ebyamawulire mu kibiina kya KOTSE Moses Mawejje, atugambye nti poliisi yali yayimiriza…

Read More