Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Ebyobusuubuzi

Ba kayungirizi bemelugunya ku nguzi mu ttaka

Bya Ivan Ssenabulya Abali mu busubuzi bwokugula nokutunda ettaka namayumba, basabye gavumenti eyongeremu amaanyi okulwanyisa enguzi. Bano bagamba nti enguzi yeviriddeko, endoliito ku ttaka okweyongera noluusi nebamaliriza nga kaoledde mu kufiirwa. Twogeddeko ne Richard Kaye, owa Kaye Property Consultants, nagamba nti amateeka wegali malungi mu gwanga okugonjolanga enkayana mu ttaka, naye ekizbu yenguzi eri mu biongole. Omukulembeze we gwanga,…

Read More

Gavumenti erabudde kampuni za ttaaba

Bya Magembe Sabiiti Ministry yeby’obusuubuzi erabudde kampuni ya Nimatobaco ne ginaayo eya Continental nga kigambibwa nti baagula taaba ku balimi mu district ye Mubende nebagaana okubasasula. Ministry erabudde nti tebagenda kuzza bugya layisinsi zaabwe kubanga tebayinza kugumnikiriza bubbi, obwenkukunala. Abalimi okuva magombolola okuli Madudu Nabingoola, Butoloogo, Kibalinga nawalala bemulugunya nti babanja kampuni zino obuwumbi 3. Atwala ebibiina by’obwegasi n’obusuubuzi mu district ye…

Read More

Abasubuzi bekalakaasa lwa kasasiro

Bya Magembe Sabiiti Ekifananyi kijiddwa mu bikadde Abatuuze mu Zooni ya Kirungi, mu South Division mu munispaali ye Mubende, bavudde mu mbeera nebayiwa kasasiro mu nguudo, nga balaga obutali bumativu eri abadukanya ekibuga olwa kasasiro. Abantu mu kitundu kino omuli, abamaduuka nabatunda eby’okulya, bagamba nti kasasiro asusse mu kitundu kino nga tayolebwa. Wabula Mayor, Eng Innocent Ssekiziyivu, agambye nti…

Read More

Aba Rising Woman bolekedde mu Kenya

Bya Eronie Kamukama Abakyala 10 banabiziness bababitaddemu engatto okwolkera ekibuga Nairobi, mu gwanga lya Kenya okwetaba mu musomo gwa Rising Woman. Wabadde wakayita emyezi 2, abakyala bano bwebasimibwa olwokuwandiika nokulaga entekateeka ya business. Bano basimbuddwa Gudula Naiga Basaza, ssentebbe owolukiiko olukola ku nsonga zabkyala ne bueiness mu dfcu. Rising Woman etegekebwa Daily Monitor, dfcu bank ne Uganda Investment Authority…

Read More

Ebbeyi y’ebinyebwa yagudde

Bya Sadat Mbogo Abalimi b'ebinyeebwa mu district ey'e Gomba bakaaba olw'emiwendo gy'ekirime kino okukka ebbeeyi. Abamu ku balimi okuli Bbosa Kato ku kyalo Mirambi, bagamba nti omwaka oguwedde babadde batunda kilo y'ebinyeebwa ku 3,500 naye kibabuuseeko okulabanga bbeyi yagudde okutuuka ku 2,300. Bagamba obuzibu buvudde ku kyabutaba na katale kamala ssonga mulimu ne bannaabwe abatasobodde kutereeza mutindo gwa…

Read More

Essundiro lyamazzi erye Katosi lya mwaka gujja

Bya Ivan Ssenabulya Essundiro lyamazzi gagadde erya Mukono-Katosi lyakujibwako engalo mu June womwaka ogujja, okusinziira ku minister owamazzi. Ronald Kibuule ategezezza nga polojekiti eno egenda okuwementa obukadde bwa Uganda 378 bweyitambula, nga kati eyimiridde ku 30 %, wabulanga okulwawo akitadde kungeri eyaksoobo  ebaddewo mu kugula ebikozesebwa. Emiirmu gigenda kutambula okumala emyaka 2, nga bwenajibwako engalo edongosezo lisubirwa okusunda…

Read More

Ebbanja lya Uganda ligenze likula

Bya Kyeyune Moses Omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga alaze okutya olwe bbanja lye gwanga erigenda likula buli kadde. Spiika okwogera bino abadde ayogeraamu ne ssbabaalirizi webitabo bya gavumenti John Muwanga ku alipoota zeyakola eza June 2018, ezal;ag anti ebbanja lya Uganda likuze okuva ku 22% nga bwebwesedde 33 nomusobyo ensimbi eza silingi nga bwegwali nga 30th June 2017…

Read More

UNBS ekoze ekikwekweto kubyamasanyalaze

Bya Ndaye Moses Ekitongole ekirondoola omutindo gwebyamaguzi mu gwanga, National Bureau of standards kiriko ebyamaguzi ebitanakakasibwa muwendo byekiboye mu kikwekweto ekirubiridde ebyamaguzi ebijingirire ebigambibwa nti byatuuse dda mu katale, mu nnaku zino enkulu. Okusinziira ku mwogezi wa UNBS, Godwin Muhwezi ekikwekweto kino kibadde ku Yamaha Centre wano mu Kampala, ngokusinga balubiridde byamasanyalaze. Kati abasubuzi basigadde bemagazza, kyenkana maduuka…

Read More

Bannayuganda bakyagaanye okwesiga banka mu uganda.

Bya samuel Ssebuliba Okunonyereza okwakolebwa mu Alipoota eya Finscop Uganda omwaka guno kwalaga nga bannayuganda ebitundu 11% bokka bwebatereka ensimbi zaabwe mu banka ez’enjawulo eziri mu gwanga , wabula nga abagenda mu banka zino okwewolawo bakola ebitundu 3% bokka. Kati kino kireseewo okwebuza nadala kunsonga lwaki bannayuganda bangi beekeka eby’okukozesa banka zino , songa buli kasera zeyongera,…

Read More

Gavumenti yakweyambisa Abenacho okutumbula ebyobulambuzi

Bya Magembe Sabiiti Minister omubeezi ow’eby’obulamubzi Godfrey Kiwanda Suubi ategezeezza nga obuwanguzi bwa Quiin Abenacho ng’ono ye Miss world Africa bwekigenda okuyamba Uganda okwongera ku byenfuna, ngeyita mu by’obulambuzi. Omukyala ono yewangudde obwa Nalulungi wa Africa mu mpaka ezensi yonna. Kiwanda agamba nti Uganda ebadde efuna abalambuzi obukadde 2 buli mwaka nga kati balubiridde okutuuka ku balambuzi obukadde…

Read More