Bya Samuel Ssebuliba.
Kyadaaki ekitongole ekiwooza ekya URA kikyusiza mu nsolooza y’omusolo ogwa OTT ogugibwa ku mikutu gi mugatta bantu giyite social media, nga kaakano omusolo guno gwakuggwangako oluvanyuma lw'esaawa 24.
Okusinziira ku nsolooza enkadde , omusolo guno gubadde gugwako buli saawa mukaaga lwezituuka ezekiro,era nga kino kibadde kiviirideko abant bangi okunyiiga.
Twogedeko n'ayogerera ekitogole kino Ian Rumanyika,…
Bya Samuel Ssebuliba.
Okunonyereza okukoleddwa ku Kampuni 100 zinaggwano mu gwanga nga kuno kweekwa Top 100 survey, kulaze nga ebitundu 64% ku byenfuna bye gwanga bwebiri wano mu Kampala.
Bwabadde efulumya eby’alabikidde mu kunonyereza kuno okwakolebwa wakati wa July ne September, omukugu mu byenfuna Dr Fred Muhumuza agambye nti ebifulumidde mu kunonyereza kuno biraze nga company ezaasinga…
Bya Sam Ssebuliba
Ba nekolera gyange bajjukiziddwa nabo okutwala obuvunayzibwa obwokutondawo emirimu, eri abantu ssi kukinenya ku gavumenti yokka.
Bwabadde ayogerera lukungaana olwamakampuni agasajakudde olwa Top 100 olwaltegekeddwa Monitor Publications Limited, omusubuzi Patrick Bitature agambye nti gavumenti terina busobozi butondawo mirimu emirungi ate ejimala eri abantu baayo, kalenga obuvunaizibwa busigala kuba nekolera gyange.
Agam,bye nti business mu Uganda…
Bya Samuel Ssebuliba.
Gavumenti esabiddwa okuteeka essira mu kutumbula bu bizinesi obutonotono, Uganda bweba yakukula mu byenfuna.
Akulira eby’emirmu mu kitongole kya SEATINI Africa Kiiza agamba nti Banayuganda bamanyi kinene ku bikwata ku by'obusubuzi naye ate batono ababiganyudwamu.
Ono awabudde nti gavumenti erina okukoma ku by’amaguzi ebiyingira mu gwanga, naddala ebya layisi kisobozese ebyaawano nabyo okuvuganya.
Bya Ndaye Moses.
Ekitongole ekikola ku by'amasanyalaze ekya UMEME kitegeezeza nga bwekifiiriddwa ensimbi obuwumbi 1.9 nga zino zigenda mubabba amasanyalaze wano e Nakulabye.
Twogedeko ne Manager wa Umeme mu bitundu bino Mwesigwa Musiguzi, naagamba nti ebifo mwebasinga okubba amasanyalaze kuliko Lubya,Masanafu, Namugona , Kawala .
Ono agambye nti mu mwaka guno mu mwaka guno bakafiirwa transformer 20 nga…
Bya Damalie Mukhaye
Bank ya Uganda enkulu etegezezza nti yakunonyereza ku kwemulugunya kwabaali abakozi mu Crane Banka 400 abagobwa mu bumenyi bwamateeka, banka eno bweyali etundibwa eri DFCU.
Bano kidiridde okuwandikira banka enkulu, nga babanja ensimbu bwuwmbi, babaliyiriore mu nnaku 45 zokka.
Kati omwogezi wa banka enkulu Charity Mugumya akaksizza nti baafunye ensonga zino mu buwandiike.
Munamateeka wabakozi bano,…
Bya Moses Ndaye
Poliisi erabudde amakapampuni ga insure begendereze ku bantu abafere, abajingirira satifikati zaabwe ezokufa basobole okubba insurance.
Okusinziira ku Abel Muhwezi omunonyererza wa poliisi kubya insure, agambye nti abantu benyigidde nnyo mu muze guno ensangi zino nekigendererwa okufuna ebintu ebyobuwerere kyokanga bakyali balamu.
Ategezeza nti okuva mu May womwaka guno, amakampuni ga insure gakafiirwa obwumbi 2…
Bya Sam sebuliba
Omumyuka wa gavana wa banka ya Uganda enkulu Luis Kasekende asabye abantu batandike okwettanira enkola ya contract mu busubuzi, bwebyobulimi wakati wabaguzi nabatunda.
Bwabadde ayogerera mu musomo gwebyobulimi ogwatefekeddwa aba Uganda Agribusiness Alliance ogwabadde e Munyinyo, Kasekende agambye nti kino kyakuyamba okugatta nkunyweza enkolagana wakati wamakolero nabalimi.
Agambye nti okunonyererza okwenjawulo, kulaze nti enkola eya…
Bya Ndaye Moses
Abamakampuni ga yinsuwa mu Uganda bagamba nti okumanyisa abantu ku mirimu gyabwe kukyabulamu, nga kusomozebwa gyebali.
Chief Financial officer ku UAP insurance, Allen Kyambadde agamba nti buli mwaka banan-Uganda akakadde 1 nekitundu 5 batambula okugenda emitala wamayanja mu mwanga agenjawulo okwetoola ensi, mu byobusubuzi wabulanga emitwalo 5 bokka bebasasula yinsuwa okwetangira ebigwa nga tebabyetegekedde.
Kati…
Bya Ivan Ssenabulya
Abavubi mu bizinga bye Kimmi mu gomboloola ye Koome ku
nnyanja Nalubale bali mu maziga oluvanyuma lwamagye ge gwanga okubakakanako nebabakuba emiggo, okubasiba nokubasulira obwennyanja obuto mu mmaali yaabwe.
Bano balajanidde omubaka wekitundu kino Johnson Muyanja Ssenyonga ensonga zabwe azituuse mu mbuga bayambibwe.
Bino bibadde ku kizinga kino ku mukolo kwebajukiridde
bweguweze omwaka omulamba bukya omuliiro gwokya…