Bya Samuel Ssebulira
Gavumenti eyozayozezza omulamuzi Solome Balungi Bossa olwokulondebwa ngomu ku balamuzi 6, abagenda okutuula mu kooti yensi yonna.
Ono yalondeddwa mu kibuga New York, mu gwanga lya America.
Minister owensonga ze bweru we gwanga Henry Okello Oryem, agamba nti kiraga nti Uganda erina wetuuse mu bye ssiga eddamuzi.
Mungeri yeemu nekitongole ekiramuzi kisanyukidde okulondebwa kwomlamuzi yoomu.
Ayogerera ekitongole ekiramuzi Vincent Mugabo yaliko byanyonyodde.