Ebyobusuubuzi
Emotoka ezikozesa enamba engwira zakukwatibwa .
Bya samuel ssebuliba.
Ekitongole ekiwooza ky’omusolo kitegeezeza nga bwekitagenda kukoma kuyigga motoka ezirudde nga z’ebalama okuwa omusolo mu uganda.
Bino webigidde nga akawungezi akayise ekitongole kino kyakategeeza nga bwekikutte emotoka 52, nga zino zibadde zikozesa enamba engwira, kyoka nga zisusizza emyezi 3 mu gwanga nga bwekiragibwa mu mateeka.
Kati twogedeko ne Ian Lumanyika nga ono yayogerera ekitongole kino n’agamba nti emotoka nyingi zibadde zekwese mu kino, wabula kati babawemukidde , era buli allina emotoka nga eno wakukwatibwa.