Bya Ivan Ssenabulya
Uganda terina nsawo nzibizi eyebye ttaka jiyite land fund.
Kino kibikuddwa minster webye ttaka Betty Amongi, labiseeko mu kakaiiko akanonyererza ku mivuyo gye ttaka, mu lunnaku lwe olwokubiri.
Etteeka lye ttaka lilagira okutondebwawo kwensawo eno, wabula Amongi ategezeza nti yatondebwawo naye ebadde tekola.
Munamateeka wakakiiko Ebert Benkya, bwagenze mu maaso okukunya Amongi amaze nakiriza nti teriiwo wabula kyebalina yensawo eyenjawulo okuwagira akakiiko aka Uganda land Commission.
Akakiiko kano kayegenda mu maaso.
Mu kusooka Amongi emirundi ebiri abaddenga ayitibwa nayenga talabikako mu kakiiko, ngolukiiko lwa cabinet lwerubaddenga lumuterayo akabega.
Ono ku Bbalaza Bamugemereire yamuyisizaako ebibaluwa ebimuyita , ekyamwanguyizza okwereeta.