Ebyobusuubuzi
Banka enkulu egwana kunonyerezaako ku nkozesa yaayo eyensimbi.
Bya Samuel ssebuliba.
Ebitongole bya Gavument ebikola ogw’okulondoola ensimbi okuli Palamenti , kalisoliiso wa gavumenti ne ssabalirizi webitabo bya gavumenti basabidwa okutwala akadde beetegereze ebigenda mu maaso munzirukanya ya banka enkulu eye gwanga.
Bino bigidde mukadde nga banka eno yaakavaayo okusaba eweebwe obuwumbi 500 nga zino zakugiyambako okudda engulu oluvanyuma lw’okulemwa okufuna amagoba mubintu byonna byerudde nga esigamu ensimbi
Twogedeko ne Julius Kapwepe, nga ono yakulira Uganda debt network nagamba nti kino kigwana kunonyerezaako, naddala butya banka nga eno bweyinza okufiirwa ensimbi nga zino.
Kati ono ayagala ensonga eno essoggolwe kubanga lyandiba ekobaane ely’okubba ensimbi z’omuwi w’omusolo