Bya Getrude Mutyaba.
E Masaka Police n’amagye bakedde kugugulana n’abavubuka abeekumyemu ogutaaka lwa luguudo olubi oluva mu Nyendo okudda e Masaka.
Abavubuka bano nga bakulembeddwamu Ssansa Appolo,era nga ye kansala w’olukiiko lwa Nyendo-Ssenyange bagamba nti bakooye okubuzabuzibwa ab’ekitongole kya UNRA ekirudde nga kibasuubiza okubakolera oluguudo luno.
Kati kino kiwalirizza poliisi ekakkanya obujagalalo okubalumbaera nga nakakano bakyagugulana
Ayogerera poliisi mu greater Masaka Lameck Kigozi agamba nti baliko abantu bebakutte