Bya Ritah Kemigisa

Olwaleero polisi efulumizza alipoota ekwata kubuzzi bw’emisango, ngeraze ngemisango bwegyeyongedde n’ebitundu 3% wakati wa 2016 ne 2017.
Bwabadde afulumya alipoota eno etunuulide emisango eggyazibwa okuva mu January 1st okutuusa nga December 31st 2017, akulira ekitongole ekinonyereza ku buzzi bw’emisango Grace Akullo agambye nti emisango egyazibwa mu 2017 gyali emitwalo 25 mu 2000, atenga mu 2016 gyali emitwalo 24 mu 3,000.
Akulo agambye nti ku gino emitwalo 6 mu 6,000 gyatalibwa mu kooti negisalibwa, emitwalo 10 mu 5,000 gikyanonyerezebwako ku police, songa emitwalo 3 mu 6600 gikyali mu kooti.
Wabula ategeezeza nti okulemwa okunonyereza ku misango gino mu bwangu kivudde ku mugugu omunene ogwokunoyereza oguli mu kitongole kyabambega, songa ebikozesebwa n’ensimbi tebalina.
Akulo agambye nti emisango egisinga egyazibwa gyali gyakulwana nga giwera emitwalo 3 nekudako obutabangguko mu maka, okusobya ku baana kokulagajjalira abaana.