Bya Samuel Ssebuliba.
Ssabapolisi we gwanga John Martins Okoth Ochola ayogedde ku mugenzi Okello Wilfred Makmot nga omusajja abadde omumanyi ku kyakola, omukozi, songa wampisa ekisukiridde.
Bwabdde yetabye mukusabira omwoyo gw’omugenzi wano ku All saints cathedral Nakasero, Ochola agambye nti ono yaliko mukamaawe mu 1989 ne 1990 bweyali nga akyaduumira police y’omubanga e Ntebe , songa ye mukaseera ako yali akyali OC .
Omugenzi Makmot yafiira munyonyi e Dubai, bweyali ava mulukungana olukwata ku mundu entono olwali mu America.
Omusawo wa polisi Dr. Moses Byaruhanga agambye nti ono olumbe olwamusse lwava ku mawuggwe