Bya Shamim Nateebwa.
Katikiro wa Buganda Charles peter Mayiga akubirizza abantu abadduka mu byalo okuddayo basobole okwenyigira mu bulimi okusinga okudukira mu bibuga okukola obulimu obutonotono.
Katikkiro okwogera bino abadde mu maka g’omusubuzi omututumufu Tom Kitandwe ow’okukyalo masenene mu ggombolola ye sekanyonyi musaza lye ssingo bwabadde alambula abalimi be mwanyi abali mubitundu ebyo.
Katikkiro ategezezza nti abantu ebitundu 75% abaduka mubyalo nebeyiwa mu kibuga gyebatalina mirimu bakola obulimo omutali makulu.
Katikkiro nga awerekedwako ba minisita ba kabaka balambudde ebitundu ebyenjawulo mukawefube owokukubiriza abantu bakabaka okulima emwanyi.