Bya Ivan Ssenabulya
Kooti e Lugazi akakwungeezi akayiseeramudde omusango ogubadde guvunanibwa eyaliko omubaka wa Buikwe South Dr Lulume Bayiga ogwo kukuba abasirikale ba poliisi nokukuma omuliro mu bantu.
Omulamuzi wa kooti ento e Lugazi Aisha Nabukera amusingisizza omusango gwokukuba absirikale, era namulagira okuwa engasi ya kooti ya mitwalo 40, ate emisango emiralala nejigoba.
Omulamuzi agambye nti okukuba abakuuma ddembe kikolwa kibi nyo era ekyetagisa okuvumirira.
Lulume yakwatibwa mu Decemba womwaka oguwedde, okuva ku kitebbe kye gombolola ye Ngongwe, mu lusisira lwebyobulamu olwali lutegekeddwa aba Rotary Club.
Eno waliwo okulwanagana okwamanyi ekyavirako Lulume okukosebwa nebamutwala ku kisituliro.
Wabula Lulume tamatidde ne nnamula eno.