Bya Ruth Anderah
Kooti enkulu mu Kampala egaanye okuyimiriza okuwlirira emisango, ejivunanibwa eyali omubaka wa Bubulo West mu palamenti Tonny Kipoi ejigenda mu maaso mu kooti yamagye.
Kipoi yekubira enduulu mu kooti enkulu, mngabadde ayagala omulamuzi Musa Sekaana ekiyimiriza kooti yamagye, okumuvunaana kubanga Muntu wabulijjo.
Amagye ge gwanga gagamba nti Kipoi mu mwaka gwa 2013 ngali nabamgye abalala aba UPDF bekobaana mu lukwe okusuula gavumenti ya Uganda.
Bano wabula emisango bagyegaana, nga wteogerera baliku alimanda mu kkomera e Kigo nabamu ku nkambi yamagye e Makindye.
Omulamuzi Sekaana mu nnamula ye agambye nti tayinza, kuyingirira mirimu ejikolebwa kooti yamagye, kubanga basinziira mu tteeka erya UPDF Act, mu buli kyebakola.
Omulamuzi era agambye nti yesigamye ku bajulizi 3aboludda oluwabi, abagambye nti kijja kugotaanya okunonyereza, ssinga banabajja mu kooti yamagye okubavunanira mu kooti eza bulijjo.
Wabula omulamuzi alagidde Kipoi nti wa ddembe okujulira mu koori ejjulirwamu, ssinga aba tamatidde ne nnamula eno.