Amawulire
Abasiraamu mwetegereze omwezi
Bya Ndaye Moses, Akukiira ekitongole kya Sharia ku kitebe ky’obusiraamu ekya Uganda Muslim Supreme Council Sheikh Yahaya Ibrahim Kakungulu asabye abasiraamu okwetegerezza omwezi akawungeezi ka bbalaza 3rd June 2019 olw’ensonga nti za kubeera ennaku 29th kukalenda y’obusiramu .
Sheikh kakungulu agamba nti singa omwezi guba tegulabise akawungeezi ako Eid El Fitri yakukuzibwa ku lunaku olw’okubiri nga 4th June 2019.
Mungeri emu ategezezza nga Eid El Fitri bwejja okukuzibwa ku lunaku olw’okusaatu nga 5th June 2019 singa omwezi tegulabiika ku bbalaza.