Amawulire
Owa WHO agenda kusisinkana Museveni
Bya Ritah Kemigisa
Ssenkulu w’ekitongole kyebyobulamu mu nsi yonna, World Health Organization Dr. Tedros Adhanom, mutaka mu Uganda ngazze kwekennenya engeri egwanga gyeryetegeseemu okwennaga ekirwadde kya Ebola ekyakakasiddwa mu district ye Kasese.
Okusinziira ku mwogezi wa ministry yebyobulamu, Emmanuel Ainebyona ono agenda kwetaba mu nteseganya nomukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni kungeri yokulwanyisaamu ekirwadde kino.
Guno gwe mulundi gwa Dr Adhanom ogwokusatu okukyala mu Uganda okuva Ebola lweyakaksibwa ku muliraano mu DRC mu August wa 2018.
Nga yakatuuka mu bubaka bwe asabye abanatu bonna okubeera abegendereza, nagamba nti Ebola mu DRC yabasukako, eranga kizibu okuterebeza.