Skip to content Skip to footer

Ab’eddembe ly’obuntu babanja obuwumbi 5

Bya Prosy Kisakye

Akakiiko akalera eddembe lyobuntu mu gwanga aka Uganda Human Rights commission, katanudde okubanja gavumenti obuwmbi okuliwa eri abantu, abazze batulugunyizbwa.

Mu kwogera kwe wakati mu kwetegkera olunaku, lwokulwanyisa ebikolwa ebyokutuluguny abantu olugenda okukwatibwa nga 26th June, ssentebbe wakakiiko kano, Haji Meddie Kaggwa said agambye nti okulwawo okusasula abantu bano, kibakosezza nnyo, kubanga nabanmu betaaga obujanjabi.

Kati Haji Kaggwa asabye ministry yebyensimbi okutekamu obwangu okulondoola ensimbi zino ezlagirwa akakiiko ne kooti ye ddemb lyobuntu okuweebwa abantu abatuluguniyzibwa.

Okusinziira ku alipoota yakakiiko eyomwaka 2018, ku misango 746 egyalopebwa, emiswango 346 gyali gya kutulugunyizibwa.

Leave a comment

0.0/5