Amawulire
Abatuuze bagudde ku mulambo
Bya Abubaker Kirunda, Omuvubuka eyali yabula okumala ssabiiti 3 ewaabwe asangibwa nga mufu
Omugenzi ategerekese nga Ronald Salam nga mutuuzewe Busanga mu gombolola ye Magogo mu disitulikiti y’eKamuli.
Sentebe w’ekitundu Karism Bagga ategezeza nti omulambo gwasangibwa nga gutandise okuvunda mu ssamba ye bikajjo nga teguliiko bintu bya kyama.
Bagga agamba nti family yomugenzi yali yaloopa okubula kwomuntu waabwe.
Omulambo bagukwasiza police okwongera okukola okunonyereza.