Amawulire
Aba taxi e Busoga bediimye
Bya Abubaker Kirunda
Abagoba ba taxi mu bitundu bya Busoga olwaleero bediimye, nebagaana okusabaza abantu nga bawakanya poliisi nentekateeka yaayo eyokusasuzanga ssente mu nkola empya olwokumenya amateeka goku nguudo.
Kino kati kisanyalazza ebyentambula, ngabasabaze bakonkomalidde ku makubo ate nekiwa aba boda boda omwaganya okuwanika ebisale.
Ssentebbe owekibiina ekigatta ba dereva e Jinja, ekya Jinja Taxi operators Kalidi Muyingo agambye nti abasirikale balina engeri gyebatandise okubatyoboola wakati mu kukwasiza enkola empya eya New express penalty.
Bagamba nti enkola mpya wabulanga babanja nebisale ebyemabega.