Ebyobusuubuzi
Babakutte lw’akutunda ddagala lyabirime effu
Bya Sadat Mbogo
Abantu 2 bebakwatiddwa mu bitundu by’e Mpigi nga basangiddwa nga batunda eddagala ly’ebirime erijingirire.
Abakwatiddwa kuliko Alex Mugisha ne Justine Nannyonga nga kati bakuumibwa mu kaduukulu ka poliisi e Mpigi.
Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekikulembeddwa ab’ekitongole ekirondoola omutindo gw’eddagala ly’ebirime okuva mu Ministry y’ebyobulimi, obuvubi n’obulunzi.
Akulembeddemu ekikwekweto kino, Isaac Wamasembe agambye nti ebikwekweto bino byatandise nga byakwetooloola egwanga lyonna.