Amawulire
Abanonyi b’obubudamo boononye nyo obutodde
Bya Prossy Kisakye, Abakola ogwokunonyereza balaze okutya olwokusanawo kwobutonde mu bifo awakumibwa abanonyi bobubudamo mu uganda.
Nga ayogera ne ddembe fm John Asiimwe akulira ebyokunonyereza mu kibiina kya Centre for Policy Analysis (CEPA) ategezeza nti obutonde tebukyasobola kuwanirira bungi bwa babanonyi bobubudamo ekintu ekyobulabe enyo.
Anyonyodde nti abanonyi bobubudamo mu bitundu gye bali baviirako okutema enyo emiti okusobola okuzimba ensisira mwe basula, okufuna enku ezokufumbisa ne birala.
Asiimwe alabudde nti singa govt tebaako kyekola kunsonga eno eggwanga lyolekedde akatyabaga ke nkyukakyuka mu mbeera y’obudde enkambwe.