Amawulire
Abaana bajjeeyo amajambiya mu lumbe olw’ettaka
Bya Sadat Mbogo
Katemba n’okusattira byeyolese mu lumbe abaana bwebaggyeyo amajambiya n’emiggo okulemesa kitaabwe okuziikako omugenzi era n’ebamugoba nekukibanja
Bino bibadde ku kyalo Kakipuuya mu ggombolola y’e Kabulasoke mu district ey’e Gomba.
Abaana musanvu okuli n’omuggya na nnyina beebagobezza kitaabwe Muhammad Kiwalabye, 55, omulambo ogwomu ku boolugandalwe eyafudde nga tebaagala aguziike ku kibanja kyebaludde nga bamupeeka okukivaako bbo babeeko ebyabwe byebakolerako.
Ekibanja ekyogerwako kiweza yiika 10 sso nga waliwo n’ekirala ekiri ku kyalo ekiriranye ekiyitibwa Lugaaga ekya yiika 13 kyebamutegeezezza nga bwebaagala okukitunda bbo bafunemu ensimbi beegaggawalire.
Aduumira police mu district ey’e Gomba Alfonse Musoni atubuulidde nti police ekutte abaana bano okuli; Aidah Namale, Meddie Tegusaaga, Rashidah Nabweggamo, Huzair Mumansi, Medie Kyeyune, Baker Ssekabira n’omulala ategeerekeseeko erya Ssekamatte, nga bano bagenda kuyambako police mu kubuuliriza n’okutereeza ensonga ezivaako emberebeezi yonna.
Bakuumibwa mu kaduukulu ka police e Kabulasoke n’abamu batwaliddwa ku police e Kanoni ewali ekitebe kya police eya district ey’e Gomba.