Amawulire
3 Bafiridde mu kabenje e Najembe
Bya Philip Wafula
Abantu 3 bebafiriddewo mbulaga mu kabenje akagudde e Luwala, mu gombolola ye Najjembe mu district ye Buikwe.
Eno mmotok kika kya lukululana ebadde yetisse sementi eyambalaganye ne Fuso, bwenyi ku bwneyi, nebintu ebibaddeko nebyononeka
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezibwa Hellen Bototo, agambye nti abagenzi kuliko Samuel Gatua, munnansi wa Kenya, Mwangi Stephen naye munana-Kenya.
Omulala agambye nti ye Lynette Nabunya Atim, omutuuze we Buikwe, ngono abadde musomesa ku ssomero lya St Stephen Nakatyaba e Buikwe.
Butoto agambye nti bajeewo emirambo nejitwalibwa mu gwanika lye ddwaliro e Kawolo, ng’okunonyereza okuzuula ddala ekyavuddeo akabenje kano, bwekugenda mu maaso.