Ebyobusuubuzi
Abámata bemulugunya eri gavumenti
Bya Prosy Kisakye
Abasubuzi bamata wansi wekibiina ekibagatta ekya Livestock Development Forum, bavumiridde gavumenti, olwokuleka abasiga nsimbi okusaalawo ebbeyi yamata mu gwanga.
Ssentebbe wekibiina kino Ben Twine agambye nti embeera eno, ebaviriddeko okukoleranga mu kufiirwa.
Ono agambye nti kampuni 11 zezilongoosa amata mu gwanga, wabulanga tebateesa ku bbeyi gyebagulamu amata okuva ku balunzi.
Bano bakubidde gavumenti omulanga nti kyekiseera okuyingira mu nsonga eno, okubayamba.
Kati mu bitundu omuli abalunzi liita yamata 1 egula wakati we nnusu 200 ne 500 atenga ku muliraano mu gwnaga lya Kenya liita egula wakati wa 3,700 ne 4,070.