Skip to content Skip to footer

Omulambo gwa Nagiriinya guzuliddwa e Mukono

Bya Damalie Mukhaye

Police mu Kampala eriko omuntu omu gw’ekutte nga temwatukiriiza manya okusoboola okugyiyambako mu kononyerezza ku butemu n’okuwambibwa kwabantu 2.

Kino kiddiridde poliisi mu disitulikiti y’e Mukono ezudde omulambo gw’omukyala Nagiriinya Maria eyabuzibwawo abatamanya ngamba okuva e Lungujja.

Bwabadde ayogerako naffe omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirilwano Patrick Onyango agambye nti Omulambo gwa Nagiriinya n’omuvubuka Ronald Kitayimba gyisangiddwa mu mufulejje ku kyalo Nakitutuli mu ggombolola y’e Nama.

Nagiriinya yawambibwa ku Lw’okusatu lwa wiiki eno, abantu abatanaba kutegeerekeka nga kigambibwa nti baamujja ku geeti eyingira ewuwe.

Mu kusooka emmotoka ye, ey’ekika kya Spacio nnamba UBA 570/V yazuliddwa e Nateete mu division y’e Lubaga.

Leave a comment

0.0/5