Ebyemizannyo

Abazannyi b’omupiira abasinga ebeeyi ku lukalu lwa Africa.

Abazannyi b’omupiira abasinga ebeeyi ku lukalu lwa Africa.

gnakawooya

October 9th, 2019

No comments

Abazannyi b’omupiira abalina ekitone okukira abalala bazenga bakyusa kiraabu okusobola okukola kunsimbi eziwera era mu myaka egiyise ekivirideko emiwendo kwebafunirwa nagyo okwekanama.

Farouk Miya, y’omu ku bazannyi mu tiimu y’eggwanga asinga okuba ow’ebeeyi ng’ono yateeka omukono ku ngadano ne kiraabu ya Standard Liège ku 400,000 eza Doola (Shs1.4bn) mu mwaka gwa 2016.

Ate mu mwaka ogwadako omuzannyi okuva mu ggwanga lya Brazil Neymar yegatta ku kiraabu ya Paris Saint Germain ku bukadde bwa Yulo 222 ( shs 900 bn ) emu ku kiraabu emanyidwa okuba ey’amaanyi mu ggwanga lya Bufaransa.

Guno gw’emuwendo gw’ensimbi ogukyasinze obunene okugulibwa omuzannyi era teli mulala yali agutuuseko wabuloa nga kino kyavirako okupaluuka kwe beeyi okugulibwa abazannyi bomupiira munsi yonna.

Kati abamu ku bazannyi abafirika abakyusiza kiraabu ku buwanana bwensimbi tusobola kubasanga ku’ https://www.betway.ug/ kuliko:

Odion Ighalo

Odion Ighalo

Odion Ighalo

Odion Ighalo muzannyi okuva mu ggwanga lya Nigeria, okuzannya omupiira yatandikira mu kiraabu ya Osun United mu mwaka gwa 2000 ku myaka 11. Oluvanyuma lwokufuna obukugu yagenda mu Julius Berger (Bridge Football Club) mu mwaka gwa 2006, mu 2008, yegatta ku kiraabu ya Udinese, mu ggwanga lya Italy eyo nno gye yafunira kiraabu eyamutwala ne muwolanga zi-kiraabu endala nga tanegatta ku kiraabu ya Premier League eya Watford, eyasooka okumutwala ku bbanja n’oluvanyuma ne bamusayininga ngomuzaanyi waabwe owenkalakalira. Mu 2017 kiraabu ya Changchun Yatai esangibwa mu ggwanga lya China yamutwala ku bukadde bwa Yulo 20 (Shs400 m).

Nicolas Pépé

Nicolas Pepe

Nicolas Pepe

Ono yazaalibwa mu ggwanga lya Bufaransa naye nga bakaddebe bannansi be ggwanga lya Ivory Coast erimanyiddwa ne byafaayo ebirungi mu kuzannya omupiira era nga kino kya muyamba okuyitimula ekitone kye ng’evaamu abanyi

Pepe nga mu kiseera kino omupiira gwe ogw’ensimbi aguzaanyira mu kiraabu ya Arsenal yatandika okukyanga akapiira nga muto. Yazannyirako mu kiraabu za Bufaransa ez’enjawulo nga tanagenda mu Bungereza ku bukadde bwa Yulo 79 (shs 400m)

Kylian Mbappé

Kylian Mbappé

Kylian Mbappé

Paul Pogba y’abadde ne likodi y’omuzannyi omufirika asinga ebeeyi okutuusa omwaka oguwedde likodiye bweyamenyebwawo Kylian Mbappe eyava mu Morroco okwegatta ku kiraabu ya Paris Saint Germain.

Mbappe y’omu ku bamusaayi muto abafirika abalina ekitone mu kukyanga akapiira eky’enjawulo, kitaawe musajja nzaalwa ya Cameroon ate nnyina nzaalwa ya Algeria bombi bannabyamizannyo. Mbappe yazaalibwa mu ggwanga lya Bufaransa nasambirako mu kiraabu y’awaka nga tanagenda mu ggwanga lya Monaco okumaliriza okutendekebwa kwe.

Ono yafuuka kafulu mu mwaka gwa 2015 ne yeegatta ku tiimu ya Monaco esinga olwo amaanyige negatandika okuwulirwa wabula oluvanyuma lw’okwetaba mu mpaka za FIFA World Cup nakola bungi nyo, kiraabu ya Paris Saint Germain n’emukomyawo ku bukadde 180 obwa Yulo ( shs 700m) ku myaka 19 egy’obukulu.

Eggulire lino liwagiddwa aba PFA.
Gambling/Advertorial Content
Gambling is permitted for those +18