Ebyobulamu
Omusujja gw’ensiri gweyongedde
Bya Moses Ndaye, Minisitule ye byobulamu egamba nti omusujja gwensiri gweyongedde nyo mu bitundu okuli Karamojja, West –Nile ne Busoga
Abantu abasoba mu kasanvu bebafa buli mwaka mu ggwanga lino olwomusujja gw’ensiri.
Akwasaganya ebyomusujja gwensiri mu minisitule eno Dr. Jimmy Opigo, agamba nti e Karamoja omusujja gwensiri guyimiridde ku bitundu 34%, mu West Nile 23% ate Busoga 21%,
Kino akitadde kuzimba embi eyenyumba nobwavu obusensedde bannauganda mu bitundu ebyo.