Bya Juliet Nalwoga
Banammawulire okuva e bweru we gwanga, abagenda okusaka amamwulire agakwata ku kulonda kwa Uganda okwa 2021 balabuddwa nti bagoberere amateeka, okukakasa nti bali mu gwanga mu mateeka.
Omulanga gukubiddwa Jacob Simunyu, omwogezi wa ministule yensonga zomunda mu gwanga, ngagambye nti batekeddwa okukkasa nti visa zaabwe ntuufu nga zogera ku kuberawo kwabwe mu gwanga, kubanga bwebatayite mu makubo matuufu banaaba bolekedde okubatikka okubazaayo okwabwe.
Ono agambye nti bano basaba olukusa okuyingira mu Uganda, okuyita mu mutimbagano munnaku 3 ku 4 nebaddibwamu nga baweebwa nolukusa okuva mu Uganda Media council nakakiiko kebyokulonda.
Simunyu alabudde nti yenna atagoberera mitendra egyo, waakutwalibwa ngomumenyi wamateeka, era baakumutikka bamuzeeyo.