Amawulire

BannaUganda babaweze e Bungereza

Ivan Ssenabulya

June 25th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe ne Ivan Ssenabulya

Banna-Uganda bawereddwa obutaddamu kuyingira Bungereza, ngekiragiro kino kigenda kutandika okukola nga 29 June omwaka guno 2021.

Bungereza yatadde Uganda ku lukalala lwamawanga abanatu baamwo bebayimiriza obutagenda mu gwanga lyabwe.

Bino babitadde mu bbaluwa gyebawerezza minisita wa Uganda owensonga ze bweru we’gwanga, okuva ku kitrebe kya Bungereza.

Okusalaow bwebati kidiridde engeri obulwadde bwa ssenyiga omukambwe gyebwongedde okutabaala mu bantu mu Uganda.

Bagambye nti bannansi baabwe naba Irlanad bokka bebagenda okukirizibwa okuyingira Bungereza nga bava e Uganda.

Kinajjukirwa nti nti United Arab Emirates baayisa ekiragiro kyekimu omwezi guno atenga naba Rwanda, okuyita mu kampuni yaabwe eya Rwandair bayimiriza abasabaze abava era e Uganda.

Bino webijidde nga minisitule yebyobulamu eriko abalwadde 1,277 aba COVID-19 bebakakaksizza.

Kati omuwendo gwabalwadde ogwawamu mu Uganda gwatuuse ku bantu emitwalo 7 mu 5,537.

Ebibalo bino babifulumizza akakwungeezi akayise, nga byavudde mu kukebera okwakolebwa nga 22 June 2021, atenga abantu 29 bebafudde olwo abakafa nebawera 781.