Amawulire
Poliisi etubidde nabaana 3 abaabula
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi ye Mukono etubidde n’abaana abawala 3, abaabula okuva mu bitundu ebyenjawulo.
Abamu ku baana bano baalondeddwa abazira kisa ku makubo, nga gyebabasanga nga basobeddwa.
Sharuwa Sitenda owemyaka 16 agamba nti muwala wa Kulasi Kakooza ne Sharifah Namagga era agamba yava Lyatonde.
Mercy Namboozo owemyaka 14 muwala wa David Odero atenga maama ye Nafumpa abe Kapchorwa.
Yye Swabula Nalugga owemyaka 9, agamba nti muwala wa Mukasa Badru ne Rehema Nanono nga yava Luwero.
Kati poliisi egamba nti okubiula kwabaana kweyongedde, nga buli lunnaku bafuna abaana abali mu 2 ababuze.
Aba’oluganda lwabaana bano basabiddwa okugenda ku poliisi e Mukono bakimeyo abaana baabwe.