Amawulire
Museveni akaungubagidde Aggrey Awori
Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni akungubagidde eyali minisita webyamwulire nebyuma bi kalimagezi Aggrey Awori eyafudde ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.
Museveni agambye nti Awori yalina talanta ate munnabyamizannyo nakinku, wabula era eyayingira ebyobukulembeze neyegatta neku NRM.
Agambye nti yabegattako waddenga mu kusooka baalina enjawukana mu ndowooza zebyobufuzi.
Akulira oludda oluvuganya gavumenti e Kenya Raila Odinga naye akungubagidd Awori ngamwogeddeko ngomuntu omutuufu era empagi luwaga mu bwegassi bwa Africa ne East Africa.
Awori yafiridde ku myaka 82 ku ddwaliro lya TMR International Hospital e Naalya mu Kampala.
Omugenzi yasomera ku Harvard-educated, yavuganyako ku bukulembeze bwe’gwanga, yaliko omubaka wa palamenti eya yetaba nemu Olympics wa 1960 ne 1964.