Amawulire
Embeera mu malwaliro e Mubende mbi
Bya Magembe Ssabiiti,
Akakiiko ka parliament akalondoola ensasanya ye nsimbi mu kulwanyisa ekirwadde kya ssenyiga omukabwe Covid-19 kalaze obwenyamivu olw’emeera embi eri malwaliro e Mubende mu kulwanyisa ekirwadde kino nga abasawo tebalina bikozesebwa bimala kwosa ne ddagala obutabeera malwaliro.
Kino kidiridde akakiiko akalwanyisa Covid-19 e Mubende nga kakulirwa RDC Marry Nyakwera Baguma okutegeeza ababaka bano nga bwebatayina nsimbi mukusomesa abantu ku ngeri yokwetangiramu ekirwadde kino saako amalwaliro obutabeera nabikozesebwa bimala kwetangira kirwadde kino saako eddagala ekitadde obulamu bwa basawo mu katyabaga.
Dr Michael Bukenya Kyabikola nga mubaka wa palamenti akikirira Bukuya mu disitulikiti ye Kassanda nga atuula kakiiko akalondoola enkozesa yensimbi ku kirwadde kya covid-19 agamba nti disitulikiti ye Mubende yetaaga okuddukirirwa okwamangu mu byensimbi ne ddagala eliyambako eri abantu ababeera bazulidwamu ekirwadde kya covid-19.