Amawulire
Emiwendo gyabalwala nabafa COVID-19 gikendedde
Bya Ivan Ssenabulya
Emiwendo gyabalwadde ba ssenyiga omukambwe abappya nabafa ekirwadde kino, gyongedde okukendeera mu gwanga.
Okukendeera kuno kubaddewo mu kabanga akayise, bwogerageranya ku miwendo egyalinga waggulu omwei oguwedde.
Uganda yafunanaga abafudde abasoba mu 50 nabalwadde abappya 1,500 buli lunnaku ku ntandikwa yomwezi ogwomukaaga, wakati mu muyaga gwekirwadde kino ogwokubiri.
Okusinziira ku minisitule yebyobulamu, abalwadde abappya 522 nabafu 14 bebafunise okuva mu kwekebejja okwakoleddwa nga 9 July 2021.
Wabaddewo okudirira okusinziira ku bibalo ebyafulumye olunnaku lweggulo, abalwadde abappya 615 nabafu 28 ebyavudde mu kwekebejja okwakolebwa nga 8 July 2021.
Abantu abalwadde ba COVID-19 abali mu malwaliro bakyali 996 eranga bwebabadde ennaku 3 emabega, oluvanyuma lwabantu emitwalo 6 mu 1,304 okuwona.
Ebibalo ebyawamu biraga nti Uganda yakafuna abalwadde emitwalo 8 mu 7,277 atenga wamu abanatu 2,104 bebafudde.