Amawulire

Bannamateeka bagala abaatuluguya abasibe bavunanibwe

Bannamateeka bagala abaatuluguya abasibe bavunanibwe

Ivan Ssenabulya

July 11th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Ekibiina ekigatta bannamateeka mu gwanga, Uganda Law Society bategezezza nga bwebali mu njogerezeganya ne wofiisi ya Ssabawaabi wa gavumenti okuvunaana abasirikale abagambibwa nti betabye mu kutulugunya abasibe, abateberezebwa nti bebaali bakoze obulumbaganyi ku minisita webyenguudo Gen Edward Katumba Wamala.

Abavunaanwa baleteddwa mu kooti yomulamuzi we Nakawa ku lunnaku Lwokuna wiiki wedde, wabulanga bajudde ebiwundu ku mibiri.

Pulezidenti wa ULS, Phiona Wall agambye nti kooti esaanye okuyisa ekiragiro, abasirikale abatulugunya abasibe bavunaanibwe.

Wall era agambye nti waliwo obwetaavu okuddamu okubangula abasirikale ku nkola yemirimu eyekikugu.