Amawulire

Abalunzi e Lyantonde bekubidde enduulu ewa RDC

Abalunzi e Lyantonde bekubidde enduulu ewa RDC

Ivan Ssenabulya

July 13th, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Abalunzi b’ebisolo mu disitulikiti ye Lyantonde baagumbye ku wofiisi y’omubaka wa gavumenti Catherine Kamwine nga babanja nti babaongere obukuumi ku bisolo.

Abalunzi bano nga bakulembeddwamu Coleb Mwebaze bagambye nti ekibawalirizza okwekubira enduulu, kidirirdde obubbi bwebisolo okweyongera.

Kati bagamba nti ssinga ab’ebyokwerinda tebakolawo kya mangu, baakwekalakaasa.

Omubaka wa gavumenti e Lyantonde Catherine Kamwine agambye nti baakizudde ngabalunzi bennyini bebebba ebislo bya banaabwe, era abasabye okukwatagana obulungi n’abebyokwerinda okulwanyisa omuze guno.