Amawulire

Omukadde asimattuse abebijambiya e Kyotera

Omukadde asimattuse abebijambiya e Kyotera

Ivan Ssenabulya

September 2nd, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Abatuuze ku kyalo Kiwaala mu muluka gwe Bulayi mu division ya Nnyendo-Mukungwe mu kibuga Masaka baguddemu ekyekango bwebagudde ku mulambo gw’omuntu mu kibira kye Kasonko.

Poliisi eggyayo omulambo guno, wabula gubadde guvunze, nga namaaso tegakyalimu.

Okusinziira ku bakulembeze be kitundu, omugenzi tebamumanyi naye kisubirwa yali mugoba wa bodaboda okusinziira engeri gyabadde ayambaddemu.

Wabula ono abatuuze bagamba nti okufa kwe kulabika tekwekuusa kubebijambiya.

Ssentebe we kyalo kino Teddy Tebiggwa asabye poliisi ebayambe olw’obubbi obususse mu kitundu kino.

Mungeri yeemu Namukadde Maria Goreth Nakyanzi nga mutuuze ku kyalo Kyango mu town council ye Kasaali mu disitulikiti ye Kyotera, bamutemyetemye mu Kiro ekieesezza olwaleero, era baddusizza mu ddwaliro ng’ataawa.

Kigambibwa nti ba kijambiya bazinduukirizza namukadde ono, ku lubalaza ng’ayingira mu nnyumba nebamutema omukono Kata gukutukeko.

Bano, baasooka kusuulira batuuze ku kyalo, ebibaluwa bi kiro kitwala omunaku ebibalaalika okubatema.

Poliisi ye Kyotera etuuse mu kitundu naye tewali gwebakutte, bagambye nti bagenda kunonyereza.

Namukadde Nakyanzi, asimattuse wabula anyiga biwundu mu ddwaliro e Kaliisizo-Kyotera.